Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 204 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
News

Olutindo lwa Karuma lwakuggalwa okuva nga 23 – September – Minisita Katumba

September 17, 2024 · Mubiru Ali
Minista avunaanyizibwa ku by’enguudo n’entambula Ge. Edward Katumba Wamala avuddeyo nalangirira ng’olutindo lwa Karuma bwerugenda okuggalwa okuva ku bbalaza nga 23-September-2024 nga tewali motoka yonna ejja kukirizibwa kuddamu kulukozesa.
Minisita ategeezezza nti kkampuni eyaweereddwa kkontulakiti yakutandikirawo okumenya enkokoto okusobola okuddaabiriza olutindo luno era nga omulimu guno gusuubirwa okutwala emyezi 3.
Abagoba bonna bakubiriziddwa okutandika okukozesa enguudo zino;
1. Abava e Kampala okudda e Gulu/West Nile bakukozesa Luwero—Kafu—Masindi—Paraa (Murchison Falls National Park) okutuuka e Pakwach oba e Gulu nga bayise Olwiyo wamu naabo abava e Gulu oba West Nile.
2.Abava e Lira bakukozesa Rwenkunye—Apac ngabayitira Masindi Port Ferry
3.Era abava e Lira basobola okukozesa Iganga—Nakalama —Tirinyi—Pallisa—Kumi—Soroti—Lira wamu n’okuddayo.