Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 244 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Olutalo lwa Omuloodi Lukwago ne Musisi lukyalanda .

April 6, 2016 · Mubiru Ali

Jennifer Musisi LukwagoObutakkaanya wakati wa Omuloodi wa Kampala omulonde Erias Lukwago ne nankulu w’ekitongole ekitwala Kampala Jennifer lukyali namulanda nga mabeere ga mbwa , nga bannamateeka ba KCCA bagamba nti ssiwakutuula mu ofiisi ya bwa Meeya okutuusa nga omusango oguli mu  kooti  ejulirwamu gusaliddwa . 

Ko akakiiko ka Palament ku nsonga z’obwa Pulezidenti n’ensonga z’ebweru w’eggwanga kawuliriza banamateeka ba KCCA nga bagamba nti ekiragiro kya kooti kiyinza n’obutamuganya kulayira nga Meeya  .

Wabula bo ababaka ba Palamenti omuli Odonga Otto – Aruu County n’abalala abatuula ku kakiiko kano batadde abakungu ba KCCA  ku nninga bannyonnyole engeri obukuubagano buno gyebunnaggwamu Lukwago asobole okutuula mu ofiisi ye

Ababaka bongeddeko nti katemba w’okuggala ofiisi y’obwa Meeya ateekwa okukoma mbagirawo .

Abakungu ba KCCA bakulembeddwa Minisita wa guno naguli Eng . Ibrahim Byandala nga balabiseeko eri akakiiko kano akakulirwa omubaka akiikirira  essaza lye Nyabushozi Fred Mwesigye okunnyonnyolera embalirira yaabwe ey’omwaka 2016/ 2017  .