Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 707 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Olusiisira lw’ebyenjigiriza lugguddwawo ku Old Kampala

June 13, 2019 · Mubiru Ali

Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu n’obuyiya,Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, agguddewo olusiisira lw’ebyenjigiriza ku ssomero lya old Kampala secondary School. Olusiisira luno lwakumala ennaku ssatu nga lugendereddwamu okulungamya abayizi n’abantu ab’enjawulo ku nsonga z’ebyenjigiriza n’eby’obulamu ssaako ne tekinologiya.

Bwabadde aluggulawo, Owek Kaawaase asabye abakulu b’amasomero okulungamya abaana mu bya tekinologiya kibasobozese okuja mu kyasa kino eky‘obuyiya. Agasseeko nti enkyuukakyuuka ezzeewo mu tekinologiya ebeere kyakuyiga eri abantu, bagyeyambise okwongera okuyiga n’okwongera omutindo ku mirimu gyabwe olwo lwebajja okugenda mu maaso.

Minisita weby’enjigiriza, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma ategeezezza nga olusiisira luno bwelugenda okukyuusa okumanya n’okutegeera kw’abayizi bongere okwojiwala mu bwongo.
Ebitongole eby’enjawulo byolesezza emirimu gyebakola omuli; Uganda Police, Parliament ya Uganda, Institute of Certified Public Accountants, bakayiira Garage, amasomero ag’enjawulo n’ebitongole ebirala ebiwerako.