Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 200 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Olumbe lukumiddwa mu maka ga Muhakanizi

April 22, 2023 · Mubiru Ali

Abakungubazi ab’enjawulo batandise okukunganira mu maka g’omugenzi Keith Muhakanizi, ngono abadde PS mu Office of the Prime Minister e Bugolobi. Ben Kavuya, ngono ye Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka okuziika ategeezezza nti omubiri gw’omugenzi gwabadde gusuubirwa mu Gggwanga ssaawa mwenda ez’nkya yaleeto wabula tegwaleeteddwa olwokusoomozebwa okwabadde mu ntambuza y’emigugu. Ono ategeezezza nti gwakutuusibwa mu Ggwanga olunaku lw’nkya ku ssaawa nnya ezookumakya gutwalibwe e Kololo awagenda okubeera enteekateeka entongole n’oluvannyuma gutwalibwe e Lyatonde okuziikibwa. Muhakanizi yafiira mu Kibuga Milan ekya Italy nga 13-April obulwadde bwa Kkookolo w’omumagumba.