Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 485 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Olukiiko olwakungaanya ebirowoozo ku bbago ly’abavubuka lubyanjudde eri Minisita.

September 7, 2019 · Mubiru Ali

Olukiiko nga lukulembeddwamu Owek Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, lwanjudde ebyazuulibwa ebyo ebyakungaanyizibwa okuva mu bantu ab’enjawulo naddala abavubuka okwetooloola Amasaza ga Buganda 18 ku miramwa egy’enjawulo okuli; Okukuuma n’okutaasa Nnamulondo, omuvubuka n’eby’obulamu, ebyenjigiriza, ebitone mu bavubuka, eby’obulimi n’obulunzi, obutonde bwensi, eby’eddiini, eby’obukulembeze ebyenfuna n’ebirala bingi.

Mu kwogera kwe , Owek Sekabembe abasabye batunuulire nnyo biki ebiviiriddeko obuntubulamu, obwesigwa, empisa, ensonyi, obukkakkamu, okugwawo mu bantu kubanga ezo zempagi enkulu omuntu kwatambulira.

Abavubuka okuva mu bibiina by’abavubuka ba Buganda eby’enjawulo bakubaganyizza ebirowoozo ku byava mu kunoonyereza nebakuba tooki ku biki omuvubuka byeyetaaga, byayina okukola, ebimusuubirwamu wamu n’abantu ab’enjawulo abalina okumukwatizaako okubeera ow’omugaso eri obwakabaka wamu n’eggwanga Uganda.