Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 174 listening Simba FM Live
News

Oluguudo lw’e Masaka lwakuggulwawo wiiki eno – Allan Ssempebwa

May 29, 2023 · Mubiru Ali

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority – UNRA kiwadde abakozesa oluguudo lwa Kampala – Masaka essuubi bwekitegeezezza nti mu wiiki eno abatambuza ebigere, ssaako ab’emmotoka entonotono okuli eza; buyonjo, takisi ne bbaasi bakuddamu okukozesa oluguudo luno oluvannyuma lw’okumaliriza okuddabiriza ekitunduku lutindo olwagwamu gyebuvuddeko. Bino bikakasiddwa omwogezi wa UNRA, Allan Ssempebwa K.