Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 271 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Oluguudo lwa Kira-Kasangati-Matugga nga bwerunafaanana

July 3, 2024 · Mubiru Ali
Omwogezi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority – UNRA Allan Ssempebwa avuddeyo nagumya Bannayuganda nti pulojekiti y’okukola oluguudo lwa Kyaliwajjala okuyita e Kira, Kasangati okutuuka e Matugga nga luweza kiromita 18 bwegenda mu maaso nti era kuno kuliko n’okukola oluguudo lwa Najjeera Buwaate Spur oluweza kiromita 5.
Ono era ategeezezza nti oluguudoi lwa Kira – Kyaliwajjala lwakuyisa nga emotoka bbiri bbiri ku buli ludda era nga wajja kubaawo olutindo e Kyaliwajjala okusobozesa enguudo ezivaako okudda e Naalya ne Namugongo wamu n’abantu abebigere, n’abobuggaali okubaako webayita, omuddo wamu n’amataala.