Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Wolokoso ▶ UP NEXT Gasimbagane 10:00 AM - 12:00 PM
Now Playing Simba FM Live
wolokoso show photo

On Air

Wolokoso

Sula Nsiri - Kalebule

9:00 AM - 10:00 AM 9:00 AM - 10:00 AM

Oluguudo lwa Entebe Express Highway luguddwawo

June 15, 2018 · Mubiru Ali

Omulimu gw’okuzimba oluguudo lwa Entebe Express Highway ogwagulwawo nga 22-Nov-2012 e Kabojja nga Pulizidenti Museveni yeyasimba ejjinja leero oluguudo luno lutongozeddwa Wang Yang Ssentebe wa National Committee of the Chinese People’s Political Consultative Conference (CPPCC) nga aliwamu ne Pulezidenti Museveni wali e Mpala Toll Plaza.

Oluguudo luno lujja kuba lwakusasulirwa oyo yenna analukozesa ssente ezitakka wansi wa 3,500/= era nga zijja kuyamba okusasula ebbanja eryawebwayo okuluzimba okumala emyaka 20 okuva kulunaku lwelutongozeddwa eri Exim Bank.

Oluguudo luno lwamirundi ebiri; ekitundu ekitandikira e Busega ku Northern By-pass ne lweyunga ku luggudo oluva e Kampala okudda Entebe mu kabuga ke Mpala n’olulala olwa Kilometres 12.6 olutandikira e Kajjansi okutuuka e Munyonyo.

Oluguudo luno lumazeewo obukadde bwa Dollar 476 nga era lwa Kilometres 49.5 nga ekigedererwa kya kukendeeza kumugoteko gw’ebidduka mu kibuga Kampala.