Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya twolekedde Akaseerezi era ku nnya ekiro lindirira enkabikkabi zabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 437 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Oludda oluwaabi lugudde omusango gw’okulya mu nsi olukwe ku Bannakibiina kya NUP

April 4, 2023 · Mubiru Ali
Abasibe Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP 32 abakwatibwa mu kunoonya akalulu k’omwaka 2021 mu bitundu by’e Kalangala tebinaggwa, oludda oluwaabi luleese omusango omupyaogw’okulya mu nsi olukwe nga lugamba nti wakati w’omwezi gwa April ne May wa 2021 baatulisa bbomu enkolerere mu bitundu by’Eggwanga ebyenjawulo.
Wabula oludda oluwolereza luwakanyizza omusango guno omuggya nga lugamba nti bano tebaali mu maggye, oba nti baalina abavugirizi okuva ebweru w’Eggwanga nti oba baalina ekibinja kyonna ekyabayeekera ekimanyiddwa kyebakolera.
Bannamateeka baabwe bongeddeko nti bano ekyokubasanga ne bbomu enkolerere ng’oludda oluwaabi bwerwategeeza mu misango egyasooka tekimala kutegeeza nti baali balya mu nsi yaabwe olukwe.
Kkooti y’amaggye eragidde oludda oluwaabi okuddayo lukole ennongosereza mu musango guno omuggya bakomewo oluvannyuma lwa wiiki 2. Bano singa basingisibwa omusango guno, mu UPDF Act babeera balina kuwanikibwa ku kalabba.