Oky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti kikubizza ba Minisita 2 obutebe

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ba Minisita babiri; Kiwanda Sssuubi avunaanyizibwa ku by’obulambuzi ne Benny Namugwanya omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala ate nga nga ye mubaka omukyala mu Palamenti owa Disitulikiti y’e Mubende, Bannamubende babakasukidde obutebe ssaako n’okubagonola bwebabadde mu lukiiko olukwata ku nsonga z’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Bino bibadde ku Simons Gardens Mubende era nga entabwe evudde ku Minisita Kiwanda Ssuubi okutegeeza nga Pulezidenti bw’akyali omuto ennyo olwo abantu obwedda ababangoola kwe kubakasukira obutebe ekibawalirizza okudduka mu Lukiiko luno.

Abatuuze abeetabye mu lukiiko luno bategeezezza ba Minisita nga bwebatabatumangako kukyusa ssemateeka wa ggwanga kuggya kkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Share.

Leave A Reply