Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 183 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Okweyimirirwa ddembe lyaffe erituweebwa Ssemateeka – Ababa ba NRM abakwatibwa

July 10, 2024 · Mubiru Ali

Ababaka ba Palamenti 3 okuli owa, Igara East Michael Mawanda, owa Elgon County Ignatius Mudimi Wamakuyu, nowa Busiki County Paul Akamba, baleeteddwa olunaku olwaleero mu Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa.

Bano bavunaanibwa wamu ne Munnamateeka Julius Kirya Taitankoko ne Leonard Kavundiira, Principal Cooperative Officer mu Ministry of Trade, Industry, and Cooperatives, nga bavunaanibwa okwekobaana okubulankanya ensimbi ezaali ezokuliyirira ebibiina byobweggassi ebyakosebwa mu ntalo.