Breaking
News: Eyaliko Loodi Mmeeya era Munnamateeka Erias Lukwago asabye Kkooti emukirize agende e Buyindu alongoosebwe. News: Omulamuzi wa Kkooti etuula e Makindye asindise eyali Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago mu Kkooti Enkulu atandike okuvunaanivwa News: Eyaliko Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomezeddwawo mu Kkooti yOmulamuzi etuula e Makindye.
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 589 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Okwesamba ebyobulimi kisibye abantu mu bwavu – MP Makumbi

October 28, 2016 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti akiikirira Mityana eyoobukiika ddyo, Henry Makumbi Kamya agamba nti abantu baabulijjo naddala abavubuka mu byalo, basaana okwongera amaanyi mu kukola ennyo nebatadda mu kulindirira abyo ebiva mu babaka n’oluusi abamu okudda mu lwali n’okujereegerera abalala abalala..

Ono agamba nti ekisinze okusiba abantu mu bwavu kwe kwesamba ensonga z’ebyobulimi nga n’abamu batuuka n’okuweebwa emmwanyi,kasooli n’ebirala ate nebibakalako olw’obutafaayo kubifukirira mu budde obwa ppereketya w’omusana, kino nekikuumira bangi ku bantu nga tebalina kaakuzza eri mumwa.

Makumbi era ategeezezza nga bwakooye abantu abadda mu kuyinbirira eky’emmotoka z’ababaka, emmotoka kitiibwa kimu ku bitiibwa omubaka byalina okubanabyo.