Breaking
News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 226 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Okuzza Buganda ku ntikko ssi kusiiga bizimbe kyokka. Katikkiro Mayega.

January 20, 2016 · Mubiru Ali

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayega agamba nti okuzza Buganda ku ntikko ssi mulimu mutono era ssi kusiiga bizimbe kyokka wabula mulimu munene.

Agamba nti abantu balina okuba n’ebyobulamu ebitegeerekeka, sikuddira butimba bwa nsiri kubuvubisa byenyanja, emmere ebamala nga balya nebakkuta.

Ayongerako nti ye tagenda kutiitiibya bannabyabufuzi abatayagala bya buwangwa bwa Buganda era buli abiwagira waddembe okugenda e Mengo okuwandibwako eddusu.

Bino yabyogeredde mu Bulange e Mengo mu nsisinkanoye eri abazaana n’abasajja ba Kabaka ย mu luwalo lw’amasaza.