Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 318 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Okuzimba amayumba 1200 ag’ Abapoliisi kwa kutandika

February 1, 2017 · Mubiru Ali

Ssaabaduumizi wa Police ya Yuganda, Gen. Kale Kayihura agamba nti okuzimba amayumba g’abaserikale kugenda kutandika e Naggulu ku nkingiizi za Kampala era nga bagenda kutandika n’amayumba 1200.

Kayihura okwogera bino abadde ku ttendekero lya Gadaffi Junior Staff College erisangibwa e Jinja nga afulumya abayizi abamaze okutendekebwa. Ssaabapoliisi agamba nti omwaka guno wegunaggwerako nga waakiri amayumba agasooka gawedde ate nga gali ku mulembe.

Agamba nti ng’oggyeko amayumba, baagala abaserikale babe nga baliko n’enteekakateeka eya zi Polojekiti mwebajja ssente.

Gen. Kayihura ayongerako nti abaserikale 2000 babongeddeko obukugu mu kukungaanya obujulizi mu bifo awaba wagudde enjega.