Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 320 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Okuwulira omusango oguvunaanibwa abantu 14 abateberezebwa okutta Abasiraamu gwongezeddwayo okutuuka nga 4 July

May 27, 2017 · Mubiru Ali

Okuwulira omusango kw’abateberezebwa okutta ba Sheik b’obusiraamu kkumi n’abana gwongezeddwayo okutuuka nga 4 July 2017 olwokuba nti Omulamuzi Wilson Kwesiga yetaaga obudde obumala okwetegereza obujulizi.

Kwesiga agamba nti yetaaga obudde bwa mwezi mulamba nga yetegereza fayiro z’omusango guno.

Omulamuzi Kwesiga yalondebwa omwezi oguwedde okukulembera mukuwuliriza omusango oguvunaanibwa Sheik Yunus Kamoga n’abalala ekkumi n’abasatu oluvannyuma lw’okuwumula kw’omulamuzi  Ezekiel Muhanguzi eyaweza emyaka 65.

Abalamuzi abalala abali ku musango guno kwekuli Percy Tuhaise ne Jane Kiggundu.