Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 822 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Okutusasuza ssente tekiba kyabwenkanya – Munnamateeka Sseggona

March 5, 2021 · Mubiru Ali
OKUTUSASUZA SSENTE TEKIBA KYABWENKANYA;
Munnamateeka Medard Lubega Ssegonna avuddeyo nategeeza Kkooti Ensukkulumu nti okugoba omusango ate nebalagira okusasula abawawabirwa okuli; Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda, ne Attorney General tekyetaagisa nti era kijja kumalamu abalala amaanyi abandyagadde okuwakanya ebivudde mu kalulu.
Ayongeddeko nti bwebaggyayo omusango kyategeeza nti abawawabirwa baba bawangudde. Nti era omuwawabirwa omukulu Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveniyalangirirwa dda ng’omuwanguzi era Pulezidenti nga teyetaaga ssente za Munnayuganda owabulijjo.