Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 355 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Okuttibwa kw’omukozi kukwasizza bakama be – Njeru

November 6, 2017 · Mubiru Ali

Police e Njeru mu Disitulikiti y'e Buyikwe egombyemu obwala omwami n'omukyala abafumbo ku bikwata ku kuttibwa kw'omukozi waabwe Agness Nampijja ow'emyaka 30 .

Kigambibwa nti Nampijja abadde akwata ssente mu bbaala eyitibwa Friends Bar esangibwa e Njeru era okunoonyereza kwa Police kulaga nti ekiro ekyavuddeko nga Nampijja tannafa, yannyuka kikeerezi okuva ku mulimu wabula ate enkeera n'asangibwa mu lusuku  nga z'embuyaga ezikaza engoye 

Omwogezi wa Police mu ggwanga, Asan Kasingye agambye nti Ntali Joseph ne Mukyala we balina eby'okuddamu eri Police kubanga waabaddewo okwogerezeganya wakati wa Ntali n'omugenzi ku ssimu nga tannafa. N'olwekyo bano bakuumirwa ku Police y'e Nalufenya.