Okuteesa kikulu nnyo mu kuggumiza obumu – Ssaabasajja Kabaka

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agamba nti ekintu kuteesa kintu kikulu nnyo naddala mu kuggumiza obumu.

Omuteregga bino abyogeredde mu mukolo gw’okuggalawo Bulungibwansi ogubadde mu kisaawe ky’essomero lya Old Kampala SS, n’agamba nti okuteesa kwongedde nnyo okukulaakulanya Obwakabaka bwa Buganda.

“Omukolo ogwa leero gwongedde okuggumiza bulijjo kyetwogera obukulu obuli mu kuteesa n’okukkaanya ku nsonga ezikwata ku bantu bonna. Okuteesa kuyamba ku nkulaakulana eya ssekinnoomu n’okugenda mu maaso okw’eggwanga lyonna”. Ssaabasajja Kabaka bw’ayogera. .
Omuteregga asiimye nnyo abantu ab’enjawulo ab’enyigidde mu Bulungibwansi eyatandise olunaku Lwomukaaga n’afundikirwa olunaku lwa ggyo mu Sande.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply