Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 301 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Okusabira Owek Kaaya Kavuma

August 5, 2019 · Mubiru Ali
Obwakabaka bukungubagidde Owek Godfrey Kaaya Kavuma. Mu bubaka bwatisse Omulangira David Kintu Wasajja, Ssaabasajja asiimye Owek Kaaya Kavuma olw’okumukuza wamu n’okumuteekateeka obulungi mu buweereza bweyali ayolekedde obwa Ssaabataka. Katikkiro asinzidde mu kusabira omwoyo gw’omugenzi mu Lutikko e Namirembe, naatendereza omugenzi olw’okubeera omukkakamu era omuweereza eyalwanirira okuzzaawo obwakabaka. Okusaba kwetabiddwako Maama Nnabagereka, Namasole, Baminisita ba Kabaka, Abalangira n’abambejja, n’abakungu abawerako