Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 251 listening Simba FM Live

Okusaba kwa Sejusa okw’okuwummula amagye kutandise okuwulirwa kooti

May 4, 2016 · Mubiru Ali

Kooti enkulu mu Kampala etandise okuwulira okusaba kwa Ssejusa kweyateekayo  okuwummula emirimu gya magye .

Okusaba kuwulirwa omulamuzi Margret Oguli nga Ssejusa yakuteekayo  nga 08 . 08 . 2015  ng’ ayita mu bannamateeka be abakulirwa David Mushabe . Mu kusaba  kuno Ssejusa agamba nti takyabalibwa nga muweereza mu magye kubanga takyafuna musaala , yaggyibwako emmundu wamu n’ebyambalo n’ebirala .

Wabula ye akola ku byamateeka mu magye Afande Kyamulesire agamba nti ku kyokuwummula kwa Sejusa kulina kwanukulwa muduumizi wa magye General Katumba Wamala wabula naategeeza nti omusaala gwa General Ssejusa weeguli balinda abawe akawunta kwebalina okuguteeka .