Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 631 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Okunoonyereza ku bakungu ba Bbanka enkulu kugenda mu maaso – Lt. Col. Edith Nakalema

June 14, 2019 · Mubiru Ali
Akulira akakiiko akanoonyereza ku bulyake wamu n’obukenuzi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda Lt. Col. Edith Nakalema psc(j) UK avuddeyo n’ekiwandiiko kukunoonyereza ku bakulu ba Bbanka enkulu kubigambibwa nti benyigira mukukubisa ensimbi endala obuwumbi 90.
Agambye nti akakiiko kano nga kakolera wansi wa kawayiro mu Ssemateeka wa Yuganda aka 99 (4) nga kakolera wamu n’ekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza ku misango ekya Criminal Investigation Directorate nga bakolera wansi wa kawayiro mu ssemateeka wa Yuganda aka 120 (3) (a) wamu ne Bbanka enkulu eya Yuganda bali mukukola okunoonyereza kunsonga ezekuusa ku kugula.
Okunoonyereza kuno kukolebwa oluvannyuma lwa Gavana wa Bbanka enkulu okusaba kukolebwe.
Ensonga enoonyerezebwako yekuusa ku bintu bya Bbanka ebyaleetebwa mu Ggwanga era nga mukaseera kano Abakulu mu bbanka eno, aba Customs ne Civil Aviation Authority banoonyerezebwako.
Emirimu gya Bbanka enkulu gisigadde gitambula nga bwegirina okubeera.