Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 307 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Okutambuza ekkubo ly’omusaalaba

March 30, 2018 · Mubiru Ali

Abagoberezi ba Yesu Kulisito wonna mu gganga  nga beegattira mu kibiina ekitaba enzikiriza ez’enjawulo ekya Uganda Joint Christian Council (UJCC) enkya ya leero bakedde bwa nawankya okutambuza ekkubo ly’omusaalaba nga beetegekera okujaguza  amazuukira ga Yesu Kulisitu agaliyo ku Sande eno.

Olunaku luno olwokutaano olutukuvu oluyitibwa “The Good Friday” olutambulizibwako ekkubo ly’omusaala, olw’omulundi guno lukuziddwa ku mulamwa ogugamba nti ” Obuvumu, Katonda ge maanyi gaffe wamu n’okulambikibwa” era nga wano ebikumi n’ebikumi by’abakkirizza okuva mu nzikiriza ez’enjawulo omuli ba ” Anglican, Catholic,Orthodox, Protestants ” bakungaanidde mu masannganzira agatali gamu okusinza n’okusaba Katonda wakati nga batambuza omusaalaba.

Retired Rev. Patrick Ssemanda aliko ekibiina ky’akulembeddemu nebakungaanira ku nkulungo ya Musajjaalumbwa e Mengo, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Yuganda Rt. Rev. Stanely Ntagali naye n’akulembera ekibiina okuva ku All Saints Cathedral era n’ategeeza nti Bannayuganda bonna basaanye okudda eri Katonda basabire eggwanga lino olw’ekolwa eby’ekko ebirifumbekeddemu

Ate ye Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga akulembeddemu abakkiriza okuva ku Lutikko e Lubaga so nga abavudde ku Orthodox Church e Namungoona bakulembeddwamu Father Emmanuel Ssekyewa.

Oluvannyuma ebibiina bino byonna eby’abakkiriza bikungaanidde ku kisaawe ky’essomero lya Old Kampala SS okusabira awamu .