
Nsereko agenda kwesimbawo ku bwa Pulezidenti 2026
31 — 05
Twine ne Noah Mutwe bagaaniddwa okweyimirirwa
5 — 06Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’emizannyo Peter Ogwanga avuddeyo ku nsonga y’omumyuuka wa Ssentebe wa Patriotic League Of Uganda. Cedric Ndilima Babu eyetaaga akawumbi 1 mu obukadde 500 okukyuusibwa omutima mu Gggwanga lya Bungereza; “Nsindise $2000 okuyamba ku muganda wange Cedric alwanirira obulamu bwe. Nsaba Bannayuganda banange okubeeramu n’akobuntu nga tebanalowooza ku byabufuzi byetuwagira. Ffenna tusobola okugwa ku ndiri essaawa yonna nabwekityo tubeera nekisa. Okusonda ssente kuno sikwabuwaze era kugendererwamu okutaasa obulamu era tetwetaaga kukubalaatiramu. Waayo obuyambi bwoba osobola, si kyamagezi kutandika kujereegerera. Okwagaliza okusuuka obulungi muganda wange.”