Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 293 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Okulonda kw’obukiiko bw’ebyalo kukyali – EC

December 18, 2016 · Mubiru Ali

Bannayuganda boolekedde okukanndaalirira ku kulonda obukiiko bwa LC1 ne LC2 okubadde kusuubirwa okubeerayo ku ntandikwa y’omwaka oguggya 2017.

Kino kiddiridde akakiiko akavunaanyizibwa ku by’okulonda mu ggwanga okubanga kakyali mu nteekateeka okulaba nga kassaawo engeri ennungamu enaagobererwa mu kulonda obukiiko buno.

Paul Bukenya amyuka ayogerera akakiiko k’ebyokulonda agamba nti mu kulonda okw’engeri eno, abantu babadde bakyali ku nkola eri enkadde wabula n’ategeeza nti bannayuganda bagumiikirize baggya kumanya ennaku z’omwezi, engeri y’okulondamu n’ebirala bingi.

Paul Bukenya agamba nti nga akakiiko kano kamaze okulayizibwa nga bwekakyali akapya olwo kanaalambika ku biki byekeetaaga bikolebwe.