Breaking
News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa News: Omubaka akiikirira Nansana Municipality mu Palamenti Munnakibiina ki National Unity Platform Zambaali Bulasio Mukasa avuddeyo nasaba Gavumenti
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 281 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Okukuza amazaalibwa ga Kabaka

March 9, 2023 · Mubiru Ali
Katikkiro Charles Peter Mayiga, atongozza Olukiiko, olugenda okutegeka emikolo egy’okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, nga 13 Kafuumuulampawu, 2023. Omutanda agenda kuweza emyaka 68, omwaka guno, nga yasiima enteekateeka zitambulizibwenga ku mulamwa ogw’ebyobulamu.
Bw’abadde atongoza oluliiko, Katikkiro agambye nti okuzaalibwa kwa Kabaka kunyweza Olulyo Olulangira, n’okuwa Obuganda essuubi, nga y’ensonga lwaki Obuganda bujaguza Amazaalibwa ge.
Olukiiko lukulirwa Oweek. David F.K. Mpanga, nga luliko: Oweek. Prosperous Nankindu Kavuma; Oweek. Joseph Kawuki; Oweek. Noah Kiyimba, n’abakungu abalala.