Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 438 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Okugyayo omusango musooke kifulumya mu Uganda Gazette – Ssaabalamuzi Owiny-Dollo

February 24, 2021 · Mubiru Ali
OMUSANGO GWA KYAGULANYI TUKYAGUWULIRA; Kkooti Ensukulumu etandise okuwulira okwemulugunya okwateekebwayo Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Winenga awakanya ekyokulangirirwa kwa Pulezidenti Yoweri Kaguta  Museveni ng’omuwanguzi wa Kalulu k’omwaka 2021, era Munnamateeka we Medard Lubega Sseggona avuddeyo nategeeza Kkooti nga bwalina ebiragiro okuva ew’omuntu we okuteekayo okusaba kwe okuggyayo okwemulugunya kuno era kyakoze enkya yaleero nti era ne Attorney General amutegeezezza ku nsonga eno.
Wabula Ssaabalamuzi Alphonse Owiny-Doolo amutegeezezza nti kirungi Kyagulanyi akozesezza eddembe lye mu mateeka okuggyayo okwemulugunya kwe wabula bwasomye amateeka agafuga okuggyayo okwemulugunya ku kulonda kwa Pulezidenti gagamba nti omuwaabi ne Munnamateeka we balina okukuba ebirayiro wabula nga Munnamateeka Sseggona abadde tanaba nategeeza nti agenda kukikola olwaleero nga terunaziba.
Nti era ebbaluwa eno eggyayo okwemulugunya Registrar wa Kkooti alina okugiwaayo efulumizibwe mu Uganda Gazette olwo Kkooti eryoke eyite enjuyi zombi etandike okuwulira okusaba kuno ewe ensala yaayo nti naye ekyo bwekiba tekinakolebwa bakugenda mu maaso n’omusango.
#KyagulanyiPetition #UGDecides2021