Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,399 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti kutadde Palamenti ku muliro

December 19, 2017 · Mubiru Ali

Olunaku lwa jjo ababaka mu  Palamenti baasazeewo okuyimiriza ku nnyingo ya 201b ey'etteeka erirunngamya okuteesa kwabwe mu Palamenti nebasalawo okuteesa ku bbago ly'etteeka ly'ekkomo ly'emyaka . 

Ababaka ab'oludda oluvuganya Gavumenti era abawakanya eky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti bagezezzaako okusimba nakakongo ku nsonga eno  nga baagala egobererwe olw'ensonga nti ewa ebbago ennaku ssatu okuteesebwako oluvannyuma lw'okuleetebwa mu Palamenti .

Wabula Sipiika Rebecca Alitwala Kadaga yasanze akaseera akazibu okukkakkanya embeera nga ne mu kitundu ekisooka eky'okumakya yawaliriziddwa okugoba abamu ku babaka b'oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti era n'abagaana okudda mu lutuula lw'olweggulo. 

Mu bano mwabaddemu : Omubaka Ibrahim Ssemuju Nganda,  Allan Ssewanyana,  Mubarak Munyagwa,  Gerald Karuhanga, Odur ne Akol.

Palamenti eddamu okutuula olwaleero ku ssaawa nnya.