Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 365 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Okugema ekirwadde kya COVID-19 kubeera kwa buwaze – Amama Mbabazi

December 21, 2021 · Mubiru Ali
Eyaliko Ssaabaminisita wa Yuganda John Patrick Amama Mbabazi avuddeyo nasaba Gavumenti efuule ekyokwegemesa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe lumiimamawuggwe owa #COVID-19 ekyobuwaze eri Bannayuganda.
Amama Mbabazi yabadde ayogerera mu Kkampeyini yokulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 eyatuumiddwa “Remain Vigilant Against Covid-19” eyabadde e Kololo ku Independence Grounds.
Mbabazi agamba nti okugemebwa kubeere akakwakulizo eri emirimu egimu nga ba Ddereeva b’emotoka ezitambuza abantu, abasomesa n’abaddukanya amasomero, abakola mu mabbaala n’ebiriiro by’emmere, abakola mu offiisi za Gavumenti, Super Market wamu ne mall n’ebifo ebirala.