Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 195 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Okufa kwa Oulanyah kumpadde ekyokuyiga – Hon. Ssemujju Nganda

April 5, 2022 · Mubiru Ali
Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda; “Ebiseera ebisinga mukufiirwa, abantu boogera birungi byokka, naabo abayinza okuba nga bakuzibuwaliza obulamu. Amazima okufa kwa Jacob Oulanyah kumpadde ebyokuyiga bingi, ngenda kuwandiika olukalala lw’abo abalina okusemberera jjeneza yange okwogera.
Waliwo ebirungi byofuna okubeera mu National Resistance Movement – NRM; osobola okubeera Sipiika oba Ssaabaminisita wabula olina okubeera omwetegefu okunenyeza ebintu byotakola. Nasooka okwogera ne Hon. Oulanyah nga Munnamateeka oluvannyuma nafuuka Sipiika, mu kuyisa etteeka lya POMA nali omu ku beyalagira bafulumizibwe mu Palamenti naye yali mwetowaze yampita netukwatagana oluvannyuma nenkitegeera nti yeyali enkola ye eyemirimu.”