Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 281 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Okudda kwa Bobi Wine tekutukwatako – Minisita Baryomunsi

October 3, 2023 · Mubiru Ali
Minisita avunaanyizibwa ku by’amawulire n’okuluŋŋamya Eggwanga, Dr. Chris Baryomunsi avuddeyo nasambajja ebibadde biyitiŋŋna nti Gavumenti eteekateeka okuggyako yintaneeti ku lunaku olwokuna nga 5-October olw’okutya ebiyinza okubaawo nga Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine akomawo mu Ggwanga akomawo.
Ono ategeezezza nti buno bulimba obuwedde emirimu kubanga Kyagulanyi waddembe okudda nga bwayagala nga tayinza nakubasuza nte tebeebase nga abawagizi be bwebalowooza.
Baryomunsi agamba ebigambo bino bisaasanyizibwa bawagizi ba Kyagulanyi kuba balowooza omuntu waabwe wa kitalo nnyo kyokka nga tewali amuliko era ye abadde tamanyi nakumanya nti ali mu nteekateeka zokukomawo kuno.