Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 201 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Okubala abayizi kutojjera e Makerere

January 23, 2017 · Mubiru Ali

Akakiiko akaateekebwawo Pulezidenti Museveni okubuuliriza ku ndooliito eziri mu Makerere Yunivasite katandise okubala abayizi kasobole okumanya omuwendo gw’abayizi omutuufu.

Ba Ofiisa okuva ku ttendekero lino bagambibwa okuba nga baali tebasobola kuwa muwendo mutuufu abali mu ttendekero, yensonga lwaki ssentebe w’akakiiko kano akaateekebwawo Pulezidenti , Dr. Abel Rwendeyire yasalawo wabeewo okubala abayizi omu ku omu nga, kubanga okumanya omuwendo omutuufu ogw’abayizi kyekimu ku byali byetaagibwa akakiiko kano.

Dr. Abel Rwendeyire agamba nti baagala kuzuulira ddala omuwendo omutuufu ogw’abayizi bano kubanga mu mwezi ogwomukaaga ย ogw’omwaka oguwedde baali abayizi 395046.