Breaking
News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu!
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 1,439 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM
News

Okello Christopher Onyum akirizza okwewozaako ku misango 4 egyobutemu egimuvunaanibwa.

April 23, 2026 · Radio Simba

🗳️ Okello Christopher Onyum akirizza okwewozaako ku misango 4 egyobutemu egimuvunaanibwa. Wabula ono ategeezezza Kkooti nti alina abajulizi be naye tamanyi oba anasobola okubafuna. Ono Kkooti emukakasizza nti yakumuyambako okubanoonya ngefulumya ebbaluwa.
Ono asabye Kkooti aweebwe essimu ze 2 okuli smartphone neyamapeesa ezamuwambibwako asobole okuggyamu ebibakwatako Kkooti kyekirizza era nezimuweebwa aggyemu byeyetaaga.
Okello yabadde asabye Kkooti emuwe okutuuka ku bbalaza lwabatandika okwewozaako ngayagala asooke kwogerako ne Bannamateeka be ku bajulizi 18 abaleeteddwa oludda oluwaabi.
Bya Christina Nabatanzi

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

Radio Simba News