Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,329 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Kkooti eyise abanene mu gw’okugikwatako

April 9, 2018 · Mubiru Ali

Kkooti ejulirwamu eragidde abakungu ba Gavumenti kkumi balambirira omuli omuduumizi w’amagye g’eggwanga Gen. David Muhoozi, akulira abakozi ba Gavumenti John Mitala, Omubaka mu Palamenti Moses Balyeku ne Margret Muhanga , ssaako Keith Muhakanizi okulabikako mu kkooti eno e Mbale nga 17 Kafuumuulampawu omwaka guno babeeko byebannyonnyola ku birayiro byebaakuba nga bawagira eky’okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga mu ssemateeka .

Wabula kkooti egaanyi okuyita Sipiika Rebecca Alitwala Kadaga olw’ensonga nti ye taliiko birayiro byeyakuba mu nteekateeka y’okugikwatako

Abalala abayitiddwa kuliko; Frank Mwesigwa ne Asuman Mugyenyi nga bano ba ofiisa ba Police, kkilaaka wa Palamenti Jane Kibirige wamu n’akulira eby’okwerinda bya Palamenti Ahmed Kagoye.