Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 787 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Ogwawaabirwa Kadaga ababaka gusindikiddwa mu kkooti ya Ssemateeka

January 3, 2018 · Mubiru Ali

Kkooti enkulu mu Kampala esindise omusango gw'ababaka mu Palamenti omukaaga abaawawaabira Sipiika Kadaga olw'okubayimiriza mu ntuula za Palamenti musanvu mu kkooti ya Ssemateeka gutaputibwe. 

Okusinziira ku nsalawo ewandiikiddwa omulamuzi Margret Oumo Oguli nga esomeddwa omuyambi w'omuwandiisi wa Kkooti ento Joy Kabagye, ategeezezza nti ababaka bano Sipiika Kadaga ne Ssaabawolereza wa Gavumenti baabaawawaabira mu kkooti nkyamu nga baali balina kuloopa mu kkooti etaawulula enkaayana za Ssemateek era n'alagira buli ludda okwekolera ku nsimbi ezisaasaanyiziddwa buli ludda.

Kino tekigendedde bulungi ababaka abaawaaba omusango wamu ne ba Puliida baabwe era bagugumbudde omulamuzi Oumo olw'ekyo.