Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 612 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ogwa Zaake okutoloka gwongezeddwayo

April 26, 2019 · Mubiru Ali
Okuwulira omusango oguvunaanibwa omubaka wa Mityana Municipality MP Zaake Francis Butebi kwayongezeddwayo okutuusa nga 24/05/2019 ku ssaawa ssatu zennyini ez’okumakya. Ono awerenemba n’omusango gw’okutoloka okuva mu kadduukulu ka Poliisi okutuuka mu ddwaliro e Rubaga ku kitanda.
Wabaddewo katemba mu Kkooti, omu kubalumiriza Omubaka Zaake bweyabuzeewo oluvannyuma lw’okutegeeza nti yabadde alagiddwa Poliisi okujja awe obujulizi era bwatyo nasaba Kkooti eddakiika 30 agende aleete ebiwandiiko byeyetaaga wabula nga yafuuse musu gw’e Kanyanya n’essimu naziggyako.