Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 195 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Ogwa Ssekikubo kkooti egugobye

January 24, 2017 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka, Dr. Njeiza Flavian agobye omusango gw’ebyokulonda ogwawaabirwa  omubaka w’e Lwemiyaga Theodore Ssekikubo 

Omusango guno gyebuvuddeko  gwateekebwayo Patrick Nkalubo eyavuganya Ssekikubo mu kalulu ak’omwaka ogwaggwa nga Nkalubo ayagala kkooti eragire wabeewo okuddamu okubala akalulu ate era nga ayagala kkooti emuwe olukusa okuwakanya obuwanguzi bwe.

Ng’ayogerako ne bannamawulire oluvannyuma lw’omulamuzi okukatyemula, Ssekikubo agambye nti tawangudde Nkalubo wabula awangudde Minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kuteesa wamu ne Ssaabawandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda, Sam Rwakojo ababadde beeyambisa Nkalub0 okumusuuza Lwemiyaga .

Wabula Ssekikubo ategeezezza Kuteesa nti alekeraawo okuteeka ssente mu Nkalubo wabula ye kennyini aggye yesimbewo  e Lwemiyaga bavuganye .