Breaking
News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana News: Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda nga bakulembeddwamu Eggye lya UPDF ssaako ne News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 108 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Ogwa Ssebuufu owa Pine gukyalanda

February 8, 2018 · Mubiru Ali

Kkooti enkulu mu Kampala leero ezzeemu okuwulira omusango gw'obutemu oguvunaanibwa nannyini kibanda ky'emmotoka ekya Pine – Haji Muhammad Ssebuufu. 

Ssebuufu avunaanibwa omusango gw'okutulugunya omusuubuzi Donah Betty Katushabe n'amutta olw'okulemererwa ebbanja lya bukadde mwenda ezaali zaasigalayo ku mmotoka Katushabe gyeyagula ku Pine.  

Ku bbalaza ya ssabbiiti eno Ssebuufu ne banne omusanvu bwebavunaanibwa baaleetebwa mu kkooti mu maaso g'omulamuzi Flavia Ssenoga era nebeegaana emisango egibavunaanibwa wabula okuwuliriza omisango nekutagenda mu maaso olw'oludda oluwolereza ssebuufu okusabayo akadde bongere okwetegereza obujulizi.