Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 1,435 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Ogwa Nadduli ne Mutabani we gubamezze neboogera ebikankana

October 3, 2020 · Mubiru Ali

Eyaliko Minisita waguno naguli Hajji Abdul Nadduli wamu ne mutabani we Jacana Nadduli bavudde mu kakiiko ka National Resistance Movement – NRM akawulira okwemulugunya ku mivuyo egyaliwo mu kamyuufu nga banyeenya mitwe ng’embuzi etenda enkuba.
Nadduli ne Mutabani we baali baaloopa Minisita Syda Bbumba nga bagamba nti yabba akalulu nadda ne mukati neyewogoma.
Wabula oluvannyuma lw’okuwuliriza enjuyi zombi Bannamateeka abateekebwawo ekibiina kya NRM bakizudde nti Syda Bbumba yawangula mu butuufu mu kamyufu k’ekibiina era waakuddamu okukikwatira bbendera ku kifo ky’omubaka wa Palamenti ekya Nakaseke Central. Awo Nadduli wategeerezza nti Mutabani we wakwesimbawo ku bwannamunigina.