Breaking
News: Eddogo mu bayimbi terigambika. Abegabya collabo tojja owedde. Amasaba gali e Makindye gasinga studio News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 267 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Ogwa Mbabazi ne Museveni ku by’okulonda gutandise.

March 7, 2016 · Mubiru Ali

President-Yoweri-Museveni-of-Uganda

Amama-Mbabazi1

Omusango gwa John Patrick Amama Mbabazi gweyawawaabira Pulezidenti Museveni, Ssaabawolereza wa Gavumenti wamu n’akakiiko k’ebyokulonda  gutandise leero okuwulirwa mu kooti ensukkulumu e Kololo mu Kampala.

Ba puliida b’enjuyi zonna wamu n’abalamuzi omwenda nga bakuliddwamu Ssaabalamuzi wa Yuganda Bart Katureebe basoose kwevumba kafubo okusunsulamu ebisinga obukulu mu musango guno.

Wabula leero omusango gwakusomwa oluvannyuma kooti eggyakuwa olunaku lw’enaawulira omusango guno mu bujjuvu.

Kinajjukirwa nti Mbabazi yawawaabira Pulezidenti Museveni n’akakiiko k’ebyokulonda olw’akalulu akataalimu mazima na bwenkanya.