Ogwa Mabiriizi gweyawawabira Kabaka gwa 2019

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omusango Hassan Male Mabirizi Kiwanuka gwe yaloopa ng’ayagala Kabaka amuliyirire obuwumbi 13, omulamuzi Kenneth Kakuru aguweereza mu kkooti ejulirwamu nga gujja kuwulirwa abalamuzi basatu mu January 2019.

Omulamuzi Kenneth Kakuru owa Kkooti Enkulu yagambye nti mu kiseera kino abalamuzi batono ng’ate abaliwo bakola ku misango egyetaagisa okuwulirwa mu bwangu n’agamba nti teyeetaaga kumala biseera na musango ogutali gwa mangu okugeza ng’omukadde agobwa mu nnyumba oba ennyumba okugikoona.

N’agamba nti omusango guno gusobola okulindako okutuusa omwaka ogujja ng’engyamangu gimaze okuwulirwa.

Share.

Leave A Reply