OGWA HAM NE DTB GWAKUDDAMU OKUWULIRWA

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Kkooti ejjulirwamu mu Kampala olunaku olwaleero ewadde ensala yaayo mukujjulira kukuliyirira Omusuubuzi womu Kampala Hamis Kiggundu obuwumbi 120.
Kkooti egamba nti zino zaali zimuweereddwa mu bukyamu Kkooti y’ebyobusuubuzi.
Okusinziira ku balamuzi okuli; Kenneth Kakuru , Christopher Madrama n’omumyuuka wa Ssaabalamuzi DCJ Richard Buteera, omulamuzi wa Kkooti etawulula enkayana z’ebyobusuubuzi Henery Adonyo yakola ensobi bweyalemererwa okuwulira ensonga zino okutuuka ku nkomerero yaazo nalagira Bbanka ya DTB okuliyirira Ham obuwumbi 120.
Kkooti eragidde Hamis ne Ham Enterprises okusasula ensimbi ezisaasanyiziddwa mu kuwulira okujjulira kuno nti era omusango guzzibweyo mu Commercial Court omulamuzi omulala addemu okuguwulira.
Ye Munnamateeka wa Ham Fred Muwema agambye nti agenda kuwakanya ekyokuddamu okuwulira omusango guno mu Kkooti ya East African court of justice.

Share.

Leave A Reply