Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 519 listening Simba FM Live

Oguvunaanibwa Bobi Wine ne banne gusindikiddwa mu Kkooti ya Ssemateeka

September 10, 2020 · Mubiru Ali

Eby’okwerinda binywezeddwa ku kkooti ya Buganda road, nga Pulezident wa National Unity Platform era Omubaka akiikirira Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi wine wamu ne banne bwebaali mu kwekalakaasa nga bawakanya omusolo gwa OTT bwebabadde basuubirwa okulabikako mu Kkooti eno.

Abawagizi bangi bakedde kweyiwa ku Kkooti ya Buganda Road nga babadde bamusuubira okulabikako mu maaso g’omulamuzi Doreen Kalangi.

Bannamateeka be, bawandiikira kkooti nga bagisaba omusango eguwereze mu Kkooti etaputa Ssemateeka erambulule ku bumu ku buwayiro mu tteeka erikugira enkungaana erya Public Order Management Act lye bagamba nti, lirimu ebitakwatagana bingi naddala ku musango oguvunaanibwa Kyagulanyi ne banne.

Kkooti era yali eyisizza ekiwandiiko bakuntumye ekiragira Omubaka Kyagulanyi okweyanjula mu maaso g’omulamuzi era nakino Bannamateeka ne basaba kisooke kiyimirizibwe. Shamim Malende nga yomu ku Bannamateeka ba Kyagulanyi ategeezezza nti Kkooti ekirizza omusango guno okuguweereza mu Kkooti etaputa Ssemateeka.