Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 1,024 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Obwenkanya n’emirembe tetubifunye mu Yuganda ey’awamu – Loodi Meeya Lukwago

October 9, 2017 · Mubiru Ali

Loodi Meeya wa Kampala, Ssaalongo Erias Lukwago agamba nti oluvannyuma lw’okumenya endagaano y’omwaka gwa 1962, Obwakabaka bwa Buganda buzze bubonaabona kubanga abantu abali mu Bwakabaka banyigirizibwa entakera.

Lukwago bino abyogeredde mu maaso ga Beene Empologoma ya Buganda ku mukolo gwa Bulungibwansi oguyindidde mu kisaawe ky’essomero lya Kampala mukadde mu ttuntu ly’olunaku lwa jjo.

Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga akakasizza Loodi Meeya n’Obwakabaka nti ekiseera kijjakutuuka nga Gavumenti ya wakati terina kyakukola okujjako okuwa Buganda Federal.