Breaking
News: Mu lutuula lwa Palamenti olwaleero Omubaka Omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Okwewandiisa mu Ngule kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Abasawo be Masaka abaali bakwatibwa ku biragiro bya Minisita wa Gavumenti ezebitundu Hon.
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 181 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Obwakyabazinga butandise enteekateeka eyokukulaakulanya ettaka ly’obwakyabazinga.

November 18, 2015 · Mubiru Ali

Obwakyabazinga bwa Busoga butandise enteekateeka eyokukulaakulanya ettaka ly’obwakyabazinga era busabye Buganda Land Board okubaazika ku bakugu b’e kitongole babayambeko okuteekerateekera ettaka lyabwe obulangi.
Ekibiina ky’abakungu okuva e Busoga nga Kikulembeddwa Gideon Lubale omuwandiisi w’enkalakkalira mu bwa kyabazinga basisinkanye akulira Buganda Land Board, omukungu Kyewakabye Male ku woofiisi z’ekitongole Kino ku kizimbe kya Masengere.
Gideon Lubale yagambye nti Kyabazinga alina ettaka eriwerako mu kibuga kye Jinja, okutudde ebizimbe bya bamusigansimbi, obutale, ekisaawe ky’e Bugembe., Ekkolera ly’ekirinnya n’eddala lingi erifaanaganira ddala n’ erya Ssaabasajja Kabaka, naye abalikozesa omuli ebitongole bya Gavumenti, bamusigansimbi n’abantu ba ssekinnoomu bonna bali ku byabwereere kyabatakyasobola kugumiikiriza.