Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 641 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

OBWAKABAKA TEBUYIMIRIDDE BUBI MU BY’ENSIMBI – KATIKKIRO

May 10, 2021 · Mubiru Ali
 
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Okusinziira ku mbeera gye tubaddemu ey’ekirwadde ki Ssennyiga Kolona, embeera mu Bwakabaka tetambudde bubi. Tewali kkampuni ya Bwakabaka neemu eyaggalawo; tewali mukozi yenna yasalibwa ku mulimu, ne wankubadde tubasasula akatona akaliwo. Era tewali nteekateeka ya Ssaabasajja Kabaka yayimirira newankubadde abantu tebamulabye mu bitundu bya Buganda byonna nga bulijjo bwe kiba.
Awonno, nkyogera n’essanyu nti okusinziira ku mbeera eyaleetebwa Lumiimamawuggwe n’okusinziira ku ngeri emirimu gye gitambudde mu mwaka omulamba ogwakayita, Obwakabaka tebuyimiridde bubi.”
 
Ayi Katonda kuuma Ssaabasajja Kabaka!