Breaking
News: Wuuno omuvubuka kati Nnaggagga awedde emirimu olwokutandikawo ogumu ku mulimu ogubadde tegukolebwangako mu nsi eno. News: Abawagizi mubakwateko, temubakiriza kuvuga kiddukka kyonna! News: PLU baagala kusirisa opposition bwebalowooza. Balaam beyaleka agobye bameka bebatutte mu Kkooti?!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 302 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Obwakabaka nga buli wamu ne Minisitule ya gavumenti eyebyobulamu butongozza kaweefube wokugaba obutimba bwe nsiri okwetoloola ebitundu bya

July 14, 2026 · Radio Simba

⚽ Obwakabaka nga buli wamu ne Minisitule ya gavumenti ey’ebyobulamu butongozza kaweefube w’okugaba obutimba bw’e nsiri okwetoloola ebitundu bya Buganda.

Obutimba obusoba mu bukadde 4.7m bwe bugenda okubunyisibwa mu maka ag’enjawulo n’ekigendererwa eky’okugoba n’okutangira omusujja gw’e nsiri.

Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, bw’abadde atongoza enteekateeka eno ku Bulange, asabye abantu ba Buganda okugogola amazzi agatatambula ensiri mwezizaalira, basaawe ensiri eriraanye ennyumba ensiri mwe zekweka, bawulirize ebibagambibwa abasawo abakugu baleme kuwuliriza abeeyita abasawo abaki ku mitimbagano, era bakomye okwejjanjaba wabula bagende mu bakugu bafune obujjanjabi obutuufu.

Oweekitiibwa Nsibirwa asabye abantu abanaafuna obutimba buno babusulemu buli lunaku, beewale okubukozesa mu kuvuba eby’ennyanja, okubwambala, okubukozesa nga entimbe mu madirisa, wabula babusulemu ku lw’obulungi bwa obulamu bw’abwe.

Akubirizza abakulembeze mu bwakabaka okukun

Radio Simba News