Breaking
News: Two children were killed and three others injured in a stabbing attack at Kalungu Bunga, Ggaba Parish in Makindye Division early Thursday morning. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise.
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 1,138 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Obwakabaka bwetabye ku Matikkira ga Kyabazinga ag’omulundi ogw’okutaano

September 13, 2019 · Mubiru Ali

Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era Minisita w’eby’ensimbi n’enkulaakulana, Owek Robert Waggwa Nsibirwa, Minisita w’amawulire, Olukiiko, Kabineeti, Abagenyi Era Omwogezi w’obwakabaka Noah Kiyimba, ne Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu Joseph Kawuki, bebakiikiridde obwakabaka ku mukolo ogubadde ku kyalo Kamira mu gombolola ye Butagaya mu district ye Jinja.

kulw’obwakabaka, Owek Wagga Nsibirwa, yeebazizza Kyabazinga olw’okulemberamu ekisinde eky’okuzza ennono n’obuwangwa wamu n’Enkulaakulana eyabasoga.

Agasseeko nti Obwakabaka bwa Buganda n’obwa kyabazinga bujja kutambulira wamu ku nsonga z’ennono, obuwangwa n’Enkulaakulana kubanga omukwano n’obwa sseruganda obwa Buganda ne Busoga bwava wala.

Owek Nsibirwa agambye nti mu myaka etaano egya Kyabazinga Nadiope waliwo enkulaakulana etuukiddwako omuli, okubeera obumu n’enkulaakulana mu bantu be Busoga.

Gano gegabadde amatikkira ag’omulundi ogw’okutaano bukya Kyabazinga Wilberforce Gabula Nadiope IV atuuzibwa ku ntebe y’obwa Kyabazinga.