Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 566 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Obwakabaka bwakussaawo enkolagana ne minisitule y’ebyobulamu eya Gavumenti ya wakati.

August 8, 2019 · Mubiru Ali

Ekigendererwa Kya kutumbula bya bulamu mu bantu ba Uganda.

Mu lukungaana olw’enteeseganya olutudde olwa leero ku Bulange wakati w’obwakabaka n’abakungu ba minisitule y’ebyobulamu mu Gavumenti ya wakati nga bakulembeddwamu Dr. Diana Atwine, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti abantu beetaaga okufuna obubaka obukwata ku nsonga zebyobulamu, ate era twagala abantu babeere balamu, kitwetaagaisa okukolagana ne minisitule y’ebyobulamu abantu baffe babeere balamu basobole okukola okuzza Buganda ku ntikko.

Obuyonjo mu maka nga mulimu kaabuyonjo, okunaaba mu ngalo okunywa amazzi amafumbe, abantu okuyonja emibiri gyabwe, byebimu kubirina okukolebwa okwewala eddwande eziva ku bujama.

Kaweefube w’okugema atandika mwezi gujja mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo.

Katikkiro ategeezezza nti bagenda kukola endagaano erimu endwadde ezigenda okukwatibwako ng’omu ku kaweefube w’okukyuusa embeera y’ebyobulamu mu bantu.