Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina? News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 431 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Obwakabaka bwa Buganda butongozza Endaga Bwami e Buweekula

January 10, 2018 · Mubiru Ali

Obwakabaka bwa Buganda butongozza ‘Endaga Bwami’ mu ssaza ly'e Buwekula okusobola okumalawo abantu abeeyita kye batali ne bavumaganya erinnya ly' Obwakabaka. 

Bw'abadde atongoza Endaga Bwami (identity cards) Minisiita omubeezi owa Gavumenti  ez'ebitundu Joseph Kawuki ategeezezza nti , kino bakikoze okusobola okwawula abaami ba Ssaabasajja Kabaka ku bantu abalala n' okubasobozesa okweyanjula obulungi nga balina ebiwandiiko ebiboogerako.

Owek . Kawuki agasseeko nti kino kigenda kuyamba byansusso Obwakabaka bwa Buganda n'abantu ba Kabaka okumanya  abantu abutuufu bebateekeddwa okukolagana nabo okusobola okumalawo bannakigwanyizi. 
                                                       
Ye omwami wa Ssaabasajja Kabaka owa Buwekula Luwekula Nantaayi Immaculate Kafeero aloopedde Minisita nga bwe basanze okusoomoozebwa okw'amaanyi olwa Abaami ba Ssaabasajja Kabaka abatalina we bakolera e Buwekula ekintu ekibalemesezza okukakkalabya emirimo gy' Obwakabaka.