obwakabaka bwa buganda butandise kaweefube w’okuzzaawo obutonde bw’ensi

Obwakabaka bwa Buganda nga buli wamu ne bannamikago aba Habitat For Humanity ne Prometra Uganda, batandise kaweefube w’okuzzaawo obutonde bwensi, ebibira n’entobazi nga batandikidde ku kuzzaawo e kibira kye Buyijja mu Muluka gwe Nawandigi e Mawokota.

Minisita wa Kabaka ow’ettaka, obulimi n’obutonde bwensi, Oweek Mariam Mayanja Nkalubo yakulembeddemu kaweefube ono nga ayambibwako omwami w’essaza Mawokota, Kayima David Ssekyeru, basimbye emiti egiwerako wamu n’abatuuze b’omu kitundu ekyo.

Mu kwogerakwe, Oweek Mariam akubirizza abantu okukomye omuze gw’okutema emiti kubanga omuntu akolagana butereevu n’emiti nga bagabanya omukka gwebassa.

Omwami w’essaza Mawokota Kayima David Ssekyeru, alaze obwennyamivu olw’omuwendo gw’ebibira ogukendedde mu Mawokota ate nga kino kyekimu ku bitundu katonda byeyawa ebibira ebingi ebiwerera ddala mwenda.

Enteekateeka y’okusimba emiti ya kusaasaanira amasaza ga Buganda n’ekigendererwa eky’okuzzaawo obutonde bwensi obwonooneddwa ensangi zino.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
abatuuze b’e nansana balwanidde mu lukiiko